Akabinja k’abayeekera ba ADF akaludde nga kajojobya Bannayuganda n’abatuuze mu ggwanga lya Democratic Republic of Congo kasooka kwatiikirira ku bukulembeze bwa Jamil Mukulu.
Kyokka okuva mu mwaka gwa 2015 nga Mukulu akwatiiddwa waliwo abalowooza nti akabinja kandiggwa amaanyi, naye bewuunya okulaba nga kafunye omukulembeze omujja Musa Baluku eyakayunga ne ku batujju abalala nga Islamic State.
Eriyo bangi abebuuza omusajja akulembera akabinja akatuuse n’okusitula eggye ly’egggwanga ddamba okugenda okubawenja gyebeekukumye.
#NTVNews #Akawungeezi
For more news visit www.ntv.co.ug
Follow us on Twitter / ntvuganda
Like our Facebook page / ntvuganda
Негізгі бет MUSA BALUKU AKULIRA ADF: Biibino ebitonotono ebimukwatako
Пікірлер: 82